Entakyuka (Constant)the3 2h t1kbyimaljom hi nasex,ig
![]() |
to post this article from his Luganda Scientific works on Luganda Wikipedia for free Public Consumption. |
![]() |
Entakyuka (Constant) guba muwendo ogutakyuka. Mu butuufu entakyuka (constants) n’enkyusibwo (variable) zikiikirira miwendo(values), Entakyuka guba muwendo ogutakyuka ate enkyuso guba muwendo ogusobola okukyuka.
Mu sayansi, entakyuka zikiikirira ebyekuuziza ku "kalonda w’ebitonde" (physical phenomena).Ekyokulabirako amazzi gekwata omuzira ku tempulikya eya nabwoko(dgrees) 32 Falenayiti oba nabwoki 0 (0 degrees) Selisiyaasi. Ekipimo ky'obwoki(tempulikya) kino amazzi we gekwatira omuzira kya ntakyuka(it is constant) kubanga kikakasiddwa nti amazzi gekwatira ku kipimo kya tempulikya kino kyokka.
Waliwo n’entakyuka endala ekozesebwa mu kibalangulo: Omugerageranyo (ratio) gw’obwekulungirivu (circumference) bw’ekikulungirivu kyonna ku daamita yayo nagwo guba gwa ntakyuka eyitibwa “ppaayi” . N’olwekyo singa oba ofunye daamita oba ladiya ey’ekikulungirivu , oba osoboka okufuna obwekulungirivu bwayo.
Nga Munnasayansi akozesea ekibalangulo okwekenneenya amateeka ag’ensibo, ntegeeza amateeka ag’obutonde n’okugakozesa, akozesa entakyuuka n’enkyuso. Enkuso(variable) gubamuwendo ogusobola okukyusibwa okusinziira ku mbeera z’ekibuuzo ekiba kiriwo ate entakyuka yo tesobola kukyusibwa yadde ekibuuzo(mbeera) kiba kikyuse..Enkyuso y’emu eyinza okuba entakyuka mu mbeera emu ate n’ebeera enkuso mu mbeera endala.
Eky’okulabirako: Okutebentesa kw’essikirizo kwa ntakyuka mu buwanvu obumu mu kyebulungulo ky’essikirizo ku Nsi naye okutebentesa(acceleration) kuno kukyuka okusinziira ku buwanvu obw’enjawulo, kino kitegeeza kuba kwa nkyusibwo(is variable).
Entakyuka era oyinza okugisonjola nga “ennyukuta” ekiikirira oba eri mu kifo kya “ namba ”
Obutaba nga nkyuso ezitera okulagibwa ne nyukuta za waliifu w’olulattini ezisemabyo : x,y,z…., entakyuka ziragibwa n’enyukuta wza waliifu ez’ekitundu ekisooka okutandika ne : a,b.c,….. Kyokka kyetaagisa okumanyisa omusomi oba nga ennyukuta ntakyuka , okujjawo okubuzabuzibwa. Eky’okulabirako ekirungi eky’entakyuka mu nakyenkanyanjuyi(equation) ye nakyenkanyanjuyi eya nakana(quadratic equation:
Y=ax2+ bx +c
Nga : x ne y ze nkiise oba enkyusibwo ate a,b, c z’entakyuka
Kino kitegeeza oyinza okuyingiza omuwendo gwonna mu kifo kya a, b, ne c, nakyenkanyampuyi eno n’esigala eya nakana(quadratic) osobole okugoberera amateeka agetaagisa okutuuka ku ekibazo kya yo.